Bya Boniface Kizza
Meeya we Kibuga Masaka Florence Namayanja alagidde abakugu abavunanyizibwa ku bizimbe ebizimbibwa mu kibuga kino okuli yinginiya awamu ne pulaana wakyo okukola alipoota ku bizimbe ebyenjawulo ebyazimbibwa mu makubo ge kibuga kino.

Meeya Namayanja okulagira bwati kidiridde akwemulugunya okuva mu bakungu mu kampuni ya China wi eyakwasibwa obuvunanyizibwa okukola enguudo eziyita mu kibuga wakati nga zino ziwezaako obuwanvu bwa kilomita 5 n’obuntundu 9 okwekubira endulu eri abakulu be kibuga nga omulimu gwabwe bwegugotanyizidwa banyini bizimbe ebyayingira mu ttaka lye kuubo.
Steven Kagaba nga yakulira emirimu mu kampuni ya China wi yategezeza nti bakanya okukola oluguudo oluli ku mutindo kyoka kino kirabise okubalemerera olw’abanyini bizimbe ebyayingira mu kubo okusaba okuliyirirwa nga tebanavimenya kuyisawo kubo.
Yayongeddeko nti mu kiseera kino omulimu ogwabakwasibwa guzingamye olwokulemesebwa banyini bizimbe nga mukiseera kino nabo beralikirivu nti kontulakiti yabwe eyinza okugwaako nga bemanamaliriza mulimu igwabakwasibwa.
Enguudo okuli okusika omuguwa kwe kuli Circular road, circular rise, villa road, Batch avenue nendala nga zona awamu ziweza kilomita 5 nobutundu 9 nga zakuteekebwako namatala nga omulimu gwokuzikola gwa kuwementa obuwumbi bw’ensimbi za Uganda 33. .
Meeya Namayanja kuno kwasinzidde nalagira yinginiya awamu ne pulaana okwanguwa okukola alipoota Ku ngeri ki ebizibe bino gyebyajja okuzimbibwa mu kubo era bimenyebwe mangu basobole okuyisaawo ekubo.
