Bya Boniface Kizza
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Fred Bwino avuddeyo nataangaza kundagano eyasiddwako omukono wakati wa gavumenti yakuno ne musiga nsimbi okuva munsi ya Italy ngagamba nti tegendereddemu kusuula kirime kyammwanyi wabula yakwongera kukuyitimula.

Ono asinzidde kumbuga y’e ssaza Buddu mukibuga Masaka bwabadde akwasa ebigimusa eri abakulembeze badisitulikiti ezikola ebbendobendo ly’e Masaka nga bino byawereddwayo gavumenti ya Uganda ngeri wamu nekitongole kyebyemwanyi muggwanga ekya “Uganda Coffee Development Authority” bino nga byakuyambako abalimi okwongera okulinnyisa kumakungula gabwe.
Minisita ayongeddeko nategeeza nga bweyamaze dda okusaba akakiiko akali mukunonyereza kundagaano eno okusisinkana abantu bonna abakwatibwako ku kirime kino muno nga mulimu abalimi bemmwanyi, abasubuuzi, abazisunsula nga kwotadde nabakozesa ebyo ebikolebwa mummwanyi okugenda mukakiiko okuwa endowoza zaabwe naki ekisaanye okukolebwa nga tebanaba kweyongerayo nabbago elyo.
Ono mungeri yemu ayongedde nagumya abalimi obutatya bibasomooza wakati mukulima ekirime kino gamba nga akawuka kemmwanyi, akasaanyi wamu nebbeyi yaazo nti bino bitono nnyo era bakubigonjoola.
Omubaka wa gavumenti mukibuga Masaka Katende Francis Kinene asabye abagenda okufuna ebigimusa bino okubikozesa obulungi era nasaba biwebwe abo bennyini abalina emmwanyi so si abo abagenda okubitunda obutunzi okufunamu ensimbi ezamangu, ono era abalabudde okwewala okuyingiza ebyobufuzi mubuli kimu ekiretebwa okongera abantu kunkulakulana yeggwanga.
Kamugisha Appolo ono nga yakulira eby’enkulakulana mukitongole kya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) awadde abalimi amagezi okwettanira okusimba emmwanyi gy’ebika ebyenjawulo naddala ezo ezitalumbibwa kawuka kino kibasobozese obutafiirwa nnimiro zaabwe.Era neyeyama okulaba nga bbo ng’ekitongole okulaba nga bakukwasizaako abalimi b’emmwanyi muggwanga n’okwongera kumutindo gwemmwanyi muggwanga.
Ensawo ezisoba mumitwalo essatu mwenkumi ssatu (33,000) z’ezigabiddwa okwetolola districts zonna ezikola ebbendobendo ly’e Masaka wabula ng’enteekateeka eno yakubunyisibwa eggwanga lyonna.
