Bya Elisa Nicholas Ssekitende
District y’e Ssembabule eyisizza Embablirira ya Buwumbi 33, okukola mu mu Mwaka Gw’ebyensimbi 2022-2023. Ensimbi zino zaakukola ku bintu eby’enjawulo Omuli okubbulula eby’enjigiriza, okukola enguudo n’okusasula ku Misaala gy’abakozi, ng’ezisinga zaakuva mu Gavumenti eyawakati.

Wabula wakati ng’olukiiko lugenda mu Maaso okuyisa Embalirira n’okuteesa ku Nsonga ez’enjawulo, Kkansala akyiikirira Ggombolola y’e Mabindo era Omwami wa Kabaka Atwala Omuluka Musaale Mabindo mu Ssaza Mawogola Simon Ssebbowa, aleese ekiteeso ekisaba Olukiiko lwa District okutegeeza Gavumenti egambe ku Mubaka wa Mawogola West era Minisita Omubeezi akola ku Mirimu egy’enjawulo mu Minisitule y’ebyobulamu Hajat Hanifa Kawooya, yeddeko ku bikolwa ebiweebula Buganda n’okutwala Ettaka lya Kabaka Erya Ggombolola Ssabawaali Mijwala ku Kifuba.
Minisita Hanifa Kawooya Bangirana, neyali Ssentebe wa Ssembabule Elly Muhumuza, befunyiridde Okunyaga Ettaka lya Kabaka nga bagamba balirinako Obwannanyini, era bazze balisenda Enfunda eziwera n’okwonoona ebintu, nga bakuumwa n’abasirikale era nga tebagambwako!!
Twayogeddeko ne Minisita Hanifa Kawooya n’atutegeeza, nga Bwebagala Okuteekawo Enkulakulana nga Bano Gavumenti ng’ekozesa ensimbi eziva mu Bbanka y’ensi yonna yabasuubiza okubazimbira Eddwaaliro ery’omulembe eriri ku Mutendera gwa Hospital, Kyokka nga Bawammanta Ettaka webayinza Okuliteeka tebalabawo, ng’ettaka erisinga e Mawogola-Ssembabule Lya Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II.
Bano Bagaana Okuyita mu Mitendera emituufu okufuna Olukusa okuva Mu Bwakabaka bwa Buganda, okukulakulanya n’okukolera ku Ttaka lino nebasalawo kuliwamba kukifuba ekintu Buganda kyeyagaana okukkiriza era nga Bazze bewuuba Mu Kkooti Enfunda eziwera, era ng’ebiragiro ebiyimiriza abatalina Lukusa okulekera awo Okukolera ku Ttaka lya Kabaka bizze Bizimuulwa, n’abaweereza bw’obwakabaka e Mawogola nga Baweebuulwa n’okubayisaamu Amaaso buli webaba Bavuddeyo Okuyimiriza Abampembe wakati Mukutuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwaabwe obw’okukuuma Eby’obugagga by’obwakabaka Mu Ssaza Lino Erikulemberwa Muteesa Muhammed Sserwadda.
Hanifa Kawooya Mukwogera Naffe yagambye Bwati, “Tewali Atayagala Nkulakulana, nabasenze Bakkirizibwa mu Mateeka, Ettaka Tetulina Gyetulitwala. No More Comment”
