Bya Boniface Kizza
Minisita avunanyizibwa kubulimi , obulunzi n’obuvubi Frank Tumwebaze Kagyigyi avudeyo nategeeza nti okutandika n’omwezi ogujja bakukola ebikwekweto kumakampuni n’abantu ssekinoomu abatunda ensigo ezitatukana namutindo ekiretedde abalimi okufulizibwa ensimbi nga baziguze.

Bino abyogeredde mumwoleso gwebyobulimi ogwategekeddwa ekitongole kya NARO ngakiriwamu neminisitry yebyobulimi obulunzi nobuvubi mububaka bwatisse commissioner avunanyizibwa kubirime muministry eno John Londongokol wategereza nti ebikyupuli byensigo bingi kukatale abalimi balina okubyegendereza okwewala okufirizibwa obulindo bwensimbi.
Mungeri yeeemu asabye police, ababaka ba pulezidenti mu district ezenjawulo n’abalimi okukolaganira awamu okulaba nga akatale kensigo zino kalongooka, baleme mulimo kugulekera ministry yokka.
