Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nkulakulana y’ebibuga Obiga Kania, ategeezezza nti newankubadde ng’ebibuga bingi nezi Towncouncil bitondeddwaawo mu ggwanga, wabula bifumbekeddemu ebizibu eby’enjawulo omuli omugotteko, akalippagano k’ebidduka, obwavu obuwunya n’okuwunya, ebbula ly’emirimu, obumenyi bw’amateeka ssaako obutali butebenkevu ebiremesezza ebitundu ebyo okukula!!

Obiga Kania asinzidde ku Brovad Hotel mu Kibuga Masaka, mukukubaganya ebirowoozo okwaategekeddwa Ministry ya Lands and Urban Development naba Uganda National Urban Development Forum-UNUF, nga gwetabiddwaamu abakulembeze abalonde abatwala Masaka, ab’ekikugu ssaako abakulembeze bazi Towncouncil okwetoloola ebbendobendo ly’e Masaka ogwateegekeddwa okutema empenda ku ngeri y’okukuza n’okuyitimula ekibuga ekipya ekyabaweebwa, n’ategeeza nti kinakuwaza nti abantu bakyalemye okwerwanako nga balowooleza mu Gavumenti n’abakulembeze okubayamba.
Ono akinogaanyizza nti eddimu ly’okukuza ebibuga byaffe ebinene, zi Municipaali wamu nezi Towncouncil ezikula, kirina kuva mukwewaayo kwabuli muntu okuli abakulembeze, Gavumenti wamu n’abatuuze nga benyumiriza mukukula kwebitundu byaabwe era beenyigiremu Butereevu okubizimba.
Abamu kubeetabye mukukubaganya ebirowoozo kuno okuli abakulembeze ba Masaka abalonde, ab’ekikugu, ab’ebitongole by’enkulakulana n’abalala okwetoloola ebitundu bya district ezikola Greater Masaka, bagambye nti bategedde eky’okukola okukwasaganyiza awamu Okukuza ekibuga ekyabaweebwa Kabaka.
Cue-in-ABEETABYE MUKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
