Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka eyongezzaayo okuwulira omusango gw’ettaka lya Kabaka e Mawogola, okutuuka ng’ennaku z’omwezi ssatu Omwezi ogujja omwaka guno (3-5-2022). Obwakabaka buzze bugugulana n’abantu ab’enjawulo olw’okwesenza n’okwekomya Ettaka lya Ssaabasajja Kabaka, naddala ery’embuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala eritwaaliramu n’e towncouncil y’e Ssembabule wamu ne Mijwala Subcounty.

Kkooti era eyongezzaayo ekiragiro ekikugugira omuntu yenna obutetantala kubaako kintu Kyonna ky’akolera ku ttaka eryo wadde okulisemberera, okutuusa lwerisalawo eggoye kw’ani alina olukusa okukolera ku Ttaka eryo n’okukakasa oba ddala lya Nnyininsi Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri.
Abantu musanvu okuli Minisita Anifah Kawooya Bangirana, Benon Burola Kuteesa, Akakiiko k’ebyettaka aka district y’e Ssembabule, eyali Ssentebe Elly Muhumuza n’abalala, bebaweebwa ebiragiro okwamuka ettaka lino lyebaali beekomya n’okukolerako ebintu eby’enjawulo nga tebagoberedde mitendera. Wabula olwaleero Minisita Hanifa Kawooya talabiseeko mu kkooti wadde bannamateeka be, nga kino tekirobedde kkooti kuggumizza biragiro byaayo n’okwongezaayo Omusango mpaka omwezi ogujja.
Omwami wa Kabaka atwala Essaza Mawogola Muteesa Muhammad Sserwadda, agambye nti beetegefu okuyita mu makubo gonna agagoberera amateeka, okununula, okutaasa n’okukuuma ettaka lya Kabaka ate n’okulwana okunyweza ekitiibwa kya Namulondo nti kubanga ettaka eryasaalimbirwako lya Nnono, nga lya Mbuga ya Kabaka eya Ggombolola (Ssabawaali Mijwala) sso nga n’obwakabaka bulirinako enteekateeka okubaako byebukolerawo. Ono agamba nti balina obwesige mu Kkooti, okuwa obwakabaka obwenkanya n’asanyukira eky’okuggumiza ebiragiro ebikugira abasatuusi.
