Bya Elisa Nicholas Ssekitende.
Mmotoka etambuza emigaati egya Ntake Bakery, kika Kya Canter Box Body egudde Ku luguudo oluva e Kyabakuza okudda e Kiwangala, mu Kibuga Masaka.

Mmotoka eno ebadde edda mu bitundu by’e Lwengo, etomedde Pikipiki Kika Kya Boxer Boda Boda.
Wetutuukidde Mu Kifo kino, Poliisi ebadde etuuse ng’egezaako okutaasa abalumiziddwa era ekimotoka ekisika Mmotoka ezigudde Ku Bubenje kirabiddwaako nga kizze okugyisika mu Kiwonko gyeyesolessezza.