Bya Boniface Kizza
Omusumba w’essaza ly’e Masaka kitaffe mukatonda Rt.Rev.Fr Bishop Serverus Jjumba avvuddeyo n’akyomera bannayuganda abamaliridde kukusanyaawo obutonde bwensi nga bakolako emirimu egy’enjawulo nti bano bebaletedde eggwanga okuba n’embeera y’obudde ekyukakyuka saako n’amataba agalumba abantu olutattadde nekivvirako abantu bangi okufiirwa obulamu babwe.

Omusumba okwogera bino asinzidde kulutiko e Kitovu bwabadde akulembeddemu missa yamazukira ga yesu kristu n’agamba nti okwonoona obutonde bwensi tekireeta nkyukakyuka yabudde yokka wabula kiviirako n’eddungu okusensera eggwanga lyattu Uganda.
Ye omubaka wa division ya Nnyendo Mukungwe eranga yakulira oludda oluvvuganya mupalamenti Mathius Mpuuga Nsamba asinzidde wano n’alopera omusumba olwekibba ttaka ekikudde ejjembe mubitundu bye masaka ngabantu abatali bamu bajja n’ebyapa ebijjingirire nebagobaganya abantu ku mataka nga oli atuuka n’okugobaganya ekyalo kilamba n’asaba bekikwatako okukola kunsonga eno.
Ono ayongeddeko nasaba banna Buddu okwongera okwegemesa ekirwadde kya Covid 19 nokweyongera okulima emmwanyi newankubadde nga bali mukaseera akogezesebwa k’ekirime kino nabatasaba obutaggwamu manyi.
Omwami wakabaka atwala essaza Buddu pookino Jude Muleke yennyamidde olw’ebbeyi y’ebintu eyekalamye nga eno eremesezza abantu bangi okubulwa kyebalya naddala kulunaku nga luno olw’embeera y’ensawo obutabasobozesa. Ono ayogedde n’ekukitta bantu ekigenda mu maaso muggwanga ng’abantu battibwa n’ebijambiya n’asaba abatwala eby’okwerinda okukolanga okunonyereza mubudde saako n’okufulumya lipoota kiyambeko okumalawo embeera eno.