Omu kubeeyimirize nga ye Mubaka wa Mityana Francis Zaake agambye nti Kati Bagenda Kussa Ku Nninga Gavumenti ereete obujulizi kubyebajweteka ku Bannaabwe ku Misango egyabateekebwako egy’obutujju, okuvujjirira obutujju, Okulya Mu Nsi Olukwe, Ettemu n’okugezaako Okutta!!
Bya Boniface Kizza
Kkooti Enkulu e Masaka Ekkiriza Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana, n’owa Kawembe North Muhammed Sseggirinya, okweyimirirwa ku Kakalu ka Kkooti ka Nsimbi obukadde 20 buli omu ez’obuliwo, n’ababeyimiridde baweeyo obukadde kikumi ezitali zaabuliwo.

Omulamuzi Victoria Katamba Nakintu akkiriziganyizza ne Banna Mateeka baabawawaabirwa Erias Lukwago ne Shamim Malende, nti abantu bano balina Eddembe okweyimirirwa nti kubanga emisango egyibavunaanibwa tegyinnakakasibwa, tebalina mikululo gya Buzzi bwa Misango e Mabega, bantu baabuvunaanyizibwa ababaka ba Palamenti abalamba, ate nga n’embeera y’obulamu bwaabwe ssi nnungi, wabula nebalagirwa okweyanjulanga ewa Registra wa Kkooti n’ekukitebe ekinoonyereza ku Buzzi bw’emisango emirundi ebiri buli mwezi, okuwaayo Paasipoti zaabwe ate n’okujja mu Kkooti buli webaba babetaaze.
Ono era Akkaatirizza nga abantu abengeri yonna abatannasingisibwa Misango kagibe gya ngeri ki, bwebalina eddembe okuteebwa Kasita n’obukakafu nti tebajja kwebulankanya, era ng’ababaka Ssegirinya ne banne bwebadde n’ababeeyimirira ab’obuvunaanyizibwa.
Bano beeyimiriddwa ababaka okubadde Ssemuju Nganda owa Municipaali y’e Kira, Francis Katabaazi owa Kalungu West, Nandagire Christine Ndiwalana owa Bukomansimbi North, Veronica Nannyondo owa Bukomansimbi District, Francis Zaake Butebi owa Mityana n’abalala ku Kkooti eyatandise Ssaawa Ssatu ez’enkya nekommekerezebwa e Kawungeezi nga zoolekera Ssaawa kumi Na Bbiri, Munna Mateeka Lukwago wasiimidde ensalawo y’omulamuzi okuta abantu baabwe nti kubanga tewali bukakafu ku Misango egyibavunaanibwa.
Omu kubeeyimirize nga ye Mubaka wa Mityana Francis Zaake agambye nti Kati Bagenda Kussa Ku Nninga Gavumenti ereete obujulizi kubyebajweteka ku Bannaabwe ku Misango egyabateekebwako egy’obutujju, okuvujjirira obutujju, Okulya Mu Nsi Olukwe, Ettemu n’okugezaako Okutta!!
Bano baddamu Okulabikako mu Kkooti nga 29 Omwezi guno, okwongera okuwerennemba n’emisango gyaabwe n’okumanya okunoonyereza wekutuuse ku bujulizi obubalumika.