Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Minister wa Microfinance, avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo asoomozezza abakulembeze okukomya omuze gw’okulowolezanga mukufuna ensako buli lwebaba babayise okubaako byebategeezebwa ebiyamba abantu bebakulembera.

Minisita Kasolo okwogera bino asinzidde mumusomo ogwaategekeddwa aba Microfinance Support Centre eri abakulembeze ba district y’e Ssembabule okuli Ssentebe Patrick Nkalubo (Ono akyiikiriddwa omumyuka we Jude Kiganda), RDC Pastor Kaleb Tukaikiriza, ba Ssentebe b’amagombolola kwossa ba Kkansala abakyiikirira Ggombolola ez’enjawulo wamu n’abemiruka ku Magombolola, nga guyindidde ku SOLO HITES HOTEL mu Kibuga Masaka, n’awa abakulembeze b’abantu Amagezi bulijjo okwettanira okwetaba mu nkiiko, n’emisomo mwebaba bayitiddwa basobole okuyiga ebintu eby’enjawulo byebanasomesa abantu bebakulembera basobole okuganyulwamu, mukifo ky’okubayita nebagaana okugendayo nga bagamba nga bwebaba tebaweereddwa nsako.
Abakulembeze bano babadde basoma ku nteekateeka za Gavumenti ezenkulakulakulana okuli Operation Wealthy Creation, Emyooga ne Parish Development Model, byebagenda okuddayo basomese abantu wansi bebakulembera basobole okubitegeera obulungi era n’okubyenyigiramu bakyuse embeera zaabwe. Kyeyune Haruna Kasolo wano ayongedde okukinogaanya nga Gavumenti bweyetegese okwongera buli SACCO y’emyooga ekola obulungi ensimbi obukadde 20 buli Mwaka, so ng’ezo ezikola obubi omuli abeewola ssente nezibalema okuzza, bagenda kusibwa kubanga ensimbi zino zateekebwawo kukozesebwa binayamba bantu okubajja mu bwavu, sso ssikuzirya.
Abakiise b’abantu basiimye okusomesebwa kyokka nebanokolayo ensonga ez’enjawulo ezieremesezza enkola y’emyooga okukola obulungi omuli Obutasooka kuteekateeka bantu nga tebannaweebwa ssente webawuunyirizza nti nabo basomeseddwa kati ng’ensimbi zaweerezebwa dda mu bantu, ssaako n’obukwakkulizo obuziriko ng’okusooka okwesondamu ensimbi eziweza ebitundu 30% kwezo omuntu zaaba ayagala okwewola. Bano era bategeezezza nga bwewaliyo abavubuka abatalina kyabakola, abataganyuddwa bulungi mu nsimbi zino, nti kubanga tebalina zebanasooka kuteekayo okufuna.
Omubaka wa Gavumenti atuula e Ssembabule Pr.Kaleb Tukayikiriza, asabye abantu bulijjo okubeera n’okwagala ssaako okwewaayo kukyebaba basazeewo okukola, obutaggwaamu ssuubi okusobola okugenda mu Maaso era n’akubiriza n’abakulembeze okwaagazisa abantu okwenyigira mu nteekateeka za Gavumenti, nga bazibannyonnyola bulungi.
