Bya Boniface Kizza.
Bannayuganda bakubiriziddwa okukozesa obulungi akaseera kebalina nga bakyali kunsi kino kibasobozese okumalako ensi eno nga bawanguzi era ebennyumirizibwamu buli muntu.

Obubaka buno bubawereddwa Rev. fr. Ambrosio Bwangatto Baseesagwaka bwabadde akulembeddemu ekitambiro kyamisa ekyokusabira omugenzi Timothy Matovu kukyalo Bukobogo Kalisizo town council ng’ono yaliko sabakrist w’e kigo kye Bujuuko mu ssaza ekkulu ely’e Kampala.
Mukubulirirakwe Fr. Bwangatto ategezezza ng’abantu bangi bwebazze bakola ebikolobero kubantu bannabwe, bangi n’ebatuuka nokufa nga tebaboneredde n’ekibateeka mukatyabaga nga bagenze okusisinkana omukama.
Fr. Anthony Bbale ng’ono y’ebwana mukulu wekigo kye Bujuuko atenderezza omugenzi olwokwagala ennyo eddini ye ate n’agyagaza n’abaana be ngoko kotadde n’okuba omukozi era atemotyamotya naddala ng’akola ebyo ebiyimirizaawo eklezia w’omukama. Ono ayongeddeko nakubiriza abaana okukuuma ebintu byomugenzi nga mwemuli n’ettaka bwebaba nga bakutambulira mu mukulula gwakitaabwe gwalesse kunsi.
Fr. Luis Mugumya ayogedde kulwabaganda b’omugenzi ng’amwebazizza olwokubakumakuma n’okuba ekyokulabirako eri gyebali era n’eyeyama okutwala empisa eno mu maso.
Omuttaka w’esiga ly’akasolya K’engabi e Buyaga Jose Christom Mulindwa akalatidde abaana okwagala n’okwenyumiriza mu bika byabwe ng’oko kotadde n’obuterabira ddini yabwe nga kitaabwe bwabadde.