Bya Boniface Kizza
Okusaba kunno kukoleddwa Rev. Fr. Bukkulu Nnyanzi (Owakabi) bwanamukulu wa parish y’e Bwesa bwabadde akulembeddemu okusabira abagenzi Nakalema Monica nebanne ngono yali maama w’omusubuzi Kasozi Herman owa Nabugabo Sand Beach ne Cristopher Kizza owa CK Investment mu maka gabakadde babwe e Kyasunsu Kitengeesa mukibuga Masaka.
Fr. Bukkulu agamba nti mukaseera kano abantu bangi nga mwemuli nabavubuka, tebakyayagala kukola nga bangi bakeera mumabaala kugangayira kyagambye nti kino sikyakumala bwavu ku Uganda.

Ono mungeri yemu atenderezza omugenzi Monica Nakalema olwettofali lyeyaleka agasse kuggwanga olwomutima omulungi gweyali alina nokugatta abantu n’asaba n’abaana bamulabireko.
Sheikh Masengere Yusuf atwala etwale lya Bukoto East mu Lwengo District nga ono yabaddewo kulwa District Kadhi asabye abantu okudda eri Katonda bewale ebyokweraguzalaguza bwebaba nga bakumalawo ebizibu ebizze birumba ensi nga mwemuli nekirwadde kirumiima mawuggwe ekifukamizza ensi eno.
Abaana bomugenzi nga bakulembeddwamu Kasozi Herman owa Nabugabo sand beach, Christopher Kizza owa CK investment batenderezza maama wabwe olwokubakuza obulungi ekibawaliriza okukuza olunaku luno buli mwaka. Nebasaba nabalala okuffisaawo akadde okujjukiranga kubeganda zabwe.
