Bya Boniface Kizza
Abantu ba Katonda w’onna muggwanga bakubiriziddwa okukola kyonna kyebasobola okuyimirizaawo e Kelezia nga muno mwemuli okuwagira abasosodooti n’emirimu emirala egiyimirizaawo e kelezia kino kiyambeko okubunyisa ekigambo kya Katonda w’onna muggwanga.

Obubaka buno buwereddwa Rev. fr. Francis Xavier Kikomeko bwabadde akulembeddemu missa y’okw’ebaza Katonda olwa Fr. John Baptist Ssaazi olw’okumusobozesa okutuuka kukkula ly’obusasoloddoti wamu ne sister Cissy Ndagire okukuba ebirayiro byobunaddini.
Ono ayongeddeko ng’ensangi zino abantu bw’ebatakyayagala kw’ennyigira mu mirimu gya ekelezia n’okugiddukirira ekiviriddeko abantu bangi obutakyaba na ddini ekivirako emize ng’ettemu n’ebikolwa eby’okunnywa enjaga okweyongera muggwanga.
Ronald Evans Kanyike nga ono yemubaka wa Bukoto East asinzidde wano n’ategeeza omujaguza ng’eddini bw’ekendedde mubantu nga nabamu batandise n’okusinza ebyawongo olwobwavu obubayonka obutaaba, nga kwotadde n’endwadde ez’olukonvuba ezibasensera.
Ono mungeri yemu tegezeeza ng’abantu bakatonda bwebawuddwa yawuddwamu embeera y’ebyobufuzi nga kuliko abakiririza mu gavumenti eriko n’aboludda oluvvuganya.