Bya Boniface Kizza
Eyaliko munnamagye mujje ly’eggwanga eranga y’omu kubaali abasaale okuleeta gavumenti ya NRM mu buyinza nga mukaseera kano yakwanaganya enteekateeka ya gavumenti eya Operation wealth creation mu district y’e Lwengo Col.Ssamba Hussein avuddeyo nayambalira bana Uganda okusingira ddala aboludda oluvvuganya gavumenti abattattanye ennyo ebirungi gavumenti byekoze.

Ono agamba nti ebiseera ebisinga obungi bano bamala obudde nga bogerera pulogulamu za gavumenti omuli Emyoga,operation wealth creation, parish development model nendala amafukuule songa ziretebwa kujja bantu mubwavu.
Col.Ssamba agamba nti ekisingidde ddala okwonoona pulogulamu za gavumenti b’ebakulembeze abalondebwa kyoka nebatafaayo kulondoola nakusomesa bantu butya ebintu bwebirina okutambulamu nga kwotadde nokibikumiira mumbeera ennungi.
Mungeri y’emu ono yennyamidde olwabantu bassemugayavu abawebwa ebintu omuli endokwa zemmwanyi, ensigo za kasooli,ejajaali nga kwotadde n’ensolo ezilundwa kyoka n’ebatafaayo kubirabirira kyayogeddeko ng’ekyongedde okusiba obwavu mu ggwanga.