Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Munna Mateeka w’e Ssaza lya Kabaka Kooki, Mike Mugerwa ayingidde mu nsonga z’abatuuze abali ku bunkenke olw’omugagga atandise kaweefube w’okubasindiikiriza okuva ku bibanja byaabwe, ng’agamba ettaka ly’e kyalo kwebali yaliguze.

Abatuuze bano nga bali ku Kyalo Kyalubinga mu Ggombolola y’e Byakabanda mu Ssaza Kooki district ey’e Rakai, bebali mukutya olw’omugagga ate Ssentebe w’ekyalo kyaabwe kyennyini Bosco Mutebi okutandika okubagaana okukolera emirimu egy’enjawulo omuli okuzimba n’okulima ennimiro empya ku bibanja kwebali, ng’agamba ettaka yaliguze.
Ettaka eryogerwako litebeerezebwa okuba ery’omugenzi Clement Bekyusa, gwebawangaala naye emyaka era n’atuuka okufa nga tewali gwagobaganya nti kyokka kati ssentebe waabwe atandise okubaliisa akakanja mbu webali yaguzeewo!!
Munnamateeka Mike Mugerwa agambye amuwalawala kumutwala mu mbuga zamateeka, olw’okugobaganya abatuuze abaamulonda okubabuzaako obwekyusizo.
Ye Ssentebe Mutebi agamba Omugenzi Klement Yamupangisanga Ettaka lino, nga Kati Yamuguzizza
