Bya Bonny Kizza
Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu pokino Jude muleke akubirizza abazadde okwagazisa abaana ennono n’empisa z’ebika byabwe kino kibasobozese okugunjula abaana nokubagazisa obuganda nabo bennyini okuba abantu abalimu ensa.

Bino bibadde mububaka bwatisse ssentebe wabavubuka mussaza Buddu eranga yatwala ekitongole kyabavvubuka n’okwewumuzamu omwami Ndawula Innocent mukugalawo empaka zomupira gwebigere musomero linno abayizi mwebavuganyiriza mubika byabwe.
Ono ayongeddeko nti emizzannyo lyekubo lyoka erisobola okumakuma abantu b’omutanda nga bali bumu neyebazannyo abakulembeze b’essomero lino okuvaayo nenteekateeka eno gyagambye nti yakwongera okutumbula ebitone byabaana ebitali bimu nokubamanyisa obuvvo bwebika byabwe era nasaba amasomero gonna mu Buganda okukoppa enkola eno.
Ye omuyima wankoba zambogo musomero lino omukyala Nantongo Oliver agambye nti kawefube ono tagenda koma kumupiira gwokka wabula nga bakumuyingiza nemumizannyo emirala nasaba abazadde okubakwasizaako .
Lubowa Ssebina Gyaviira owa Lubowa Ssebina Foundation agambye nti kano kekaseera okokuddayo okumanyisa abavubuka ennono yebika byabwe naddala ngabayita mubyemizannyo.
Ebika ebisoba mukumi namusanvu byebyavuganyiza era gyebyaggweredde ngekika kyengabi kyetisse empaka zino oluvannyuma lw’okkuba akasimba golo 3-0.
Ebirabo omuli sseddume wente, embuzi, ekikopo , emidali nebirabo ebirala byebyagabiddwa.
