Bya Boniface Kizza
Namukadde ow’emyaka 76 Hadijah Nakayiki nga ono mutuuze ku kyalo kye Kijjabwemi B mukonsituwensi ya Kimanya Kabonera mukibuga Masaka yaali mukattu kokugobaganyizibwa mu nnyumba wamu n’abazzukulu be. Ono gw’etusanze mumaka gabwe e Kijjabwemi atuttotoledde ennaku gy’ebayitamu mukaseera kano olwamuwalawe okumusulira abaana ngentabwe yava kumuwala okwawukana nebba.

Ono ayongeddeko nga bano kasokedde bawukana emyaka etaano taddangamu kufuna buyambi bwabazzukulu omuli ebisale byessomero saako n’ebyetaago ebyabulijjo, kyokka nga n’ennyumba eyali ey’okuyambako okuwerera abaana bano omusajja ate ayagala kugyezza. Ono nno kwekusaba abakulu naddala abakola kunsonga zamaka okuvaayo okumukwasizaako nti kuba kati embeera emuyinze.
Ayongedde nategezeeza nga mukaseera kano bwali mukutya n’ebazzukulube olwomusajja (mukoddomi) okumulaliika okumuttira mu nnyumba nabazukulu be. Mukwongera okwogerako naye alambuludde nga muwala we bwebazze nga bakola bombi ebyobuggagga kyokka nga kati kimwewunyisa olwamuwalawe okugobaganyizibwa natasobola kufuna kuntuuyo ze.

Mukogerako n’omusajja ayogerwako Wangoye Jeremiya kulukomo lwessimu atutegezeeza nga ebimwogerwako bwatabimanyi wabula nga ky’eyetaaga bano kwekumuviira munnyumbaze.
Amyuka omubaka wa gavumenti mukibuga Masaka eranga yatwala konsituwensi ya Kimanya Kabonera Ahmed Kateregga agambye nti ensonga y’azikwasa abafamile bagende maaso nokutabaganya abantu bano wabula bwekiba kiganye wakuwalirizibwa okuziyingiramu n’omukono oggwekyuma kuba ky’ebatayinza kukiriza y’emusajja okusuula obuvvunanyizibwa bwe.
