Bya Elisa Nicholas Ssekitende.
Ssentebe wa District y’e Lwengo Ibrahim Kitatta, aweze okukunga ba Ssentebe mu District awegenda okuyita omudumu gw’amafuta bateeke Gavumenti ku Nninga ebabuulire omugabo gwaabwe mu kiseera ng’amafuta gatandise okutambuzibwe era bateekebwe mu ndagaano y’okufuna ku nsimbi ezigavaamu.

Amafuta agazuulibwa mu Bitundu by’e Bunyoro, district eziwerera ddala Ttaano (5) mu bitundu bya Greater Masaka, zezalagibwa Gavumenti okuyisibwamu omudumu gw’amafuta okugatambuza okutuuka mu Ggwanga lya Tanzania nga ku zino kuliko Rakai, Kyotera, Ssembabule, Bukomansimbi ne Lwengo.
Ssentebe Kitatta agamba nti district ziba n’ebyetaago bingi wabula ng’ate Gavumenti ebavujjirira obusimbi butono okukola emirimo, ng’abatuuze bakanda kubabanja buweereza nga tebalina webabubatuusako. Ono akinoogaanyizza nti ekiseera kituuse Uganda bweeba ezudde eby’obugagga byomutakka ng’amafuta, buli munnansi aganyurwe naddala mu bitundu gyegazuuliddwa, negyegagenda okuyita.
