Bya Boniface Kizza
Kooti e Masaka ngekubirizibwa omulamuzi Christine Nantege ewadde olunaku lwanga 6 omwezi ogujja nga lwelunaku ababaka bapalamenti ababiri Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North nemunne Allan Ssewanyana owa Makindye ngalwebagenda okutandika okwewozaako.
Omulamuzi okusalawo bwati kiddiridde omuwabi wagavumenti Richard Birivvumbuka okukakasa kooti ngobujjulizi bwonna bwebubali muttano kati ngekisigadde kwekusengeka nokugattagatta empapula zobujjulizi olwo bano ababiri bagasimbagane nomulamuzi.
Bbo bapulida babawawabirwa bano nga bakulembeddwamu loodi meeya Salongo Erias Lukwago bagamba nti abantu babwe bamaze ebbanga ddene munkomyo kyoka nga balina obuvvunanyizibwa bwebalina okutukiriza, bano era bakyomedde nomuwaabi wagavumenti ali mumusango guno okubazannyiranga kubongo nga buli bwajja yekwasa obusonga ekiretedde okukumira abantu babwe ebbanga eddene mukomera.

Bbo abawawabirwa bategezeezza kooti nga bwebagenda okussayo okusaba kwabwe ngabayita mubapulida babwe palamenti eyimirize emikolo gyonna egigenda maso mupalamenti okutuuka ngabayimbuddwa ngamwemuli nokulonda sipiika nti kuba kino kibagyako eddembe lyabwe ngababaka bapalamenti abalina okwennyigira obuterevu mu mirimo gyapalamenti.
Ssegirinnya ayongeddeko ngabweyegwannyiza ekifo kyobwa sipiika kale nga bino byonna kuba kulinnyirira ddembe lye ngate nobulwadde akyali mulwadde ngakwotadde nabantu balina okulabirira.
Bano era bakyomedde nnyo omuwabi wagavumenti okwekyusizanga mukiti ngembazzi buli lwaba azze mukooti nebagamba nti bino sibakubikiriza.