Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Gujabagidde nate mu district ye Ssembabule, Olw’ekirwadde kya Kalusu ekizzeemu okubalumba. Bano babaddeko n’akalembereza omwaka oguwedde, 2021 obulwadde buno bwebwalangirirwa nti buweddeyo e Ssembabule, kyokka nga baali Bamaze emyaka egyisoba mw’esatu nga Tebakkirizibwa kutunda Bisolo omuli Ente, Embuzi, Endiga, ennyama yaazo wamu n’ebyo ebiva mu bisolo ebyo, omuli Amaliba n’obusa okuva obulwadde lwebwabalukawo mu Kitundu kyaabwe mu mwaka 2018 abalunzi nebafiirwa amagana gaabwe saako n’ensimbi enkumu.

Ggombolola ezirangiriddwa okubaamu ekirwadde kino kuliko Nabitanga, Mitima ne Lugusuulu nga kino atwala eby’obulimi n’obulunzi ku district eno Dr.Emmanuel Kawooya akitadde ku Balunzi abateerumirirwa nebamala gatambuza ensolo endwadde okuziyingiza Ssembabule naddala nga Baziggya mu bitundu nga district ya Kiruhura, Lyantonde n’eggwanga lya Tanzania, ewasinga okusibuka Obulwadde.
Ono alaze Obwennyamivu olw’abantu omuli n’abakulembeze obutagoberera Mateeka mukutambuza ebisolo, nga ba ssentebe b’ebyalo mbu olubawa Ensimbi nga bakkiriza ebisolo n’ebitamaze kweekennenyezebwa okuyingizibwa ebitundu byaabwe. “Abantu balina emputtu, ate neba Ssentebe baatufuukira ekizibu e Ssembabule wano, olumuwaayo Omutwalo ng’agaba Bbaluwa ekkiriza okutambuza ebisolo!” Kawooya bweyategeezezza.
Ono era ategeezezza nga bwewaliwo obw’eraliikirivu olw’okuba nga tewali ddagala mu Ggwanga, liyinza kuyambako kugema bisolo mu bitundu ekirwadde gyekitannatuuka, n’awanjagira Gavumenti ebayambe eribayiiyize e Bweru ng’embeera Tennasajjuka Nnyo. Kawooya akinogaanyizza nti Gavumenti nebwenaaba egezezzaako okulagiriza eddagala e Bunaayira, liyinza okutuuka ku nkomerero y’omwezi gw’okusatu oba mugw’okuna, n’akalaatira abalunzi okwekubiriza okugoberera Amateeka, bewale okutambuza ebisolo kisobozese okutangira obulwadde obutasasaana nnyo.
