Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Amyuka omubaka wa Gavumenti e Lwengo Robert Kambugu Ssennyonga, ategeezezza ng’ebikolwa eby’ekko ebyeyolekera mu Kitundu kino omuli ettemu eryabadde mu bitundu by’e Lwentale mu Ggombolola y’e Malongo, ssaako e Kinoni n’ewalala bwebisinze okuva kubwakalogo Kalenzi n’obutabanguko mu Maka.

Ono ategeezezza nga bwebatandise okusala entotto ku kiki eky’okukola okumalawo ebikolwa bino, okusobola okutebenkeza district eno okumalawo obunkenke n’avumirira n’obwakyetwala n’okutwalira amateeka mu Ngalo.
Ono ategeezezza nga bwebasazeewo okutandika kaweefube ow’okutalaaga district yonna ku mutendera gw’emiruka n’ebyalo, okusomesa abantu ku nneyisa mu Maka, okukuuma ebitundu byaabwe, eddembe n’amateeka ku Ttaka n’ebirala ng’omu kukaweefube ow’okuzza embeera mu nteeko. “Twagala okuzzaawo enkola eya mayumbakkumi nga bweyaliwo edda, abantu beekumire ebitundu byaabwe n’okweemanya” Kambugu bw’alambise.