Bya Boniface Kizza
Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu n’ekitongole ekitakabanira okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya ekye nsi yonna ekya UNAIDS kko n’aba CBS POWESA batandiise kawefube w’okusomesa abantu ba Sabasajja ebikwata ku kawuka akaleeta Mukenenya n’engeri y’okukewalamu nga baze n’enkola y’okusomeseza abantu ku kyooto.

Enteekateeka esosotoddwa mu ssaza lya Ssabasajja erye Buddu olwomuwendo gwabantu abalina akawuka akamukenenya okulinya mu bitundu bino era nga bagyitandiikidde Kajuna mu Gombolola y’e Buwunga, district ye Masaka nga mukitundu kino bakwataganye n’abakulu bebika bya Buganda ebiri mukitundu kino ebiwerera ddala 5 e Kasaka.
Akulembeddemu enteekateeka ey’okusomesa abantu bano Dr.Phionah Kalinda, okuva mu kitongole ky’ebyobulamu eky’obwakabaka ategezeeza nga embeera mukaseera kano bw’eyazeemu okusajjuka ng’okusinziira kubyafulumizibwa ekitongole ekya Uganda AIDS Commission, abantu 11% b’ebalina akawuka akaleeta Mukenenya mubitundu by’e masaka ekiraga nti omuwendo gw’abakwatiddwa obulwadde mu ssaza Buddu gusinga obukwatibwa banna Uganda bona, ky’agamba nti kibi nnyo.
Dr Kalinda, agamba nti ekikwasa ennaku kwekulaba nti omuwendo gukyalinya n’abantu abapya abakwatibwa nga ekyenyamiza, bano bw’ebali okusingira ddala abaana ab’obuwala abali wakati w’emyaka 15-24 saako abakazi abatunda akaboozi kko n’abalunnyanja.
Dr.Kalinda, wano wasinzidde n’akubiriza abazadde okwogera n’abaana baabwe ku nsonga z’okwegaddanga kuba ky’eyoleka lwatu n’addala mubiseera bya Covid nti omulimo guno baaguvako dda okusinziira ku mbuto ez’eyolekera mu baana.
Awadde n’abazadde amageezi okukuma obwesigwa wakati mukubeera nga bekebeza buli kiseera.
Wabula asomesezza abakulembeze b’ekitundu kino n’ababangula ne kunkola eziriwo eziyinza okutangira omuntu okufuna akawuka kano ez’amangu n’addala singa aba y’egase n’omuntu gw’eyekengedde.
Takomye okwo asabye abantu obutasosola balina kawuka kano wabula n’abasaba bafungize balwanyise obulwadde buno mu Buganda.
Bbo abetabye musomo guno baliko by’ebabuziza okusobola okutangazibwa omuli ebyogerwa mbu eddagala lya Panadol likweka obulwadde musaayi, enkola ey’okutangira akawuka eweebwa abo abegasse n’abantu beb’ekengedde, kko n’abegumbulidde omuzze gw’okwekebeza mu manya g’abantu abalala n’ebabaguza results.
Mukubanukula, Dr Kalinda abakubirizza okwewala okwegadanga n’abantu b’ebatamanyi ng’abesigudde empeke ezibayambako okutangira akawuka mubwangu nti kubanga eddagala lino bwolyemanyiza ly’amanyi lisobola okulwaza ebitundu ebyomubiri ebyomugaso ennyo, n’ekyakawuka okweyongera wano ababulide lwaki .
Ku baana abafunye embuto mu gandalo lya covid, alabudde abazadde abalina abaana abatafunye mbuto obutakemebwa kulowooza nti bo ababwe babade tebegadanga, mukama yababiseko kasubi nebatafuna mbuto.
Omukungu wa CBS PEWOSA akulembeddemu entekateeka eno, asabye bana Buddu okwerwanako baleme kubeera ku ntiko yakubeera n’obulwade bwamukenenya .
Omuttaka Wooyo nga yakulembeddemu battaka banne abobusolya abali mu bitundu bino 5 asabye abantu naddala abavubuka obutakkoperera byakizungu naddala mubikolwa eby’okwegatta.
Ono era alabudde abavubuka okukomya obwenzi nga bawoza mbu kusajjalaata, Okuwankawanka kko n’okwagala okwesasuza ebiviriddeko Mukenenya okwongera okwegaddanga mu Buganda.
Florence Luwedde, akwanaganya emirimo gya SACCO ya CBS POWESA akubiriza ababanguddwa okusomesa banaabwe ebituufu era ebigoberera enkola ya sayansi bwekiba nga mukenenya analinyibwa ku nfeete.
Ono agamba nti obulwadde bwa Mukenenya bweyongera nyo mubiseera bya Covid kuba essira buli omu kweyali alitadde.
Omumyuka wa Ppookino ow’okusatu Mwalimu Kato Abdallah awanjagidde abazadde ogw’okwogera n’abaana gufuuke mulimo naddala mukaseera kano nga emitimbagano gyifuuse baana baliwo.
Ono asiimye obwakabaka bwa Buganda olw’okuvaayo n’enteekateeka eno n’asaba abatuuze okuteeka munkola ebibasomeseddwa.
