Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Olwaleero abaddu ba Allah abayisiraamu okwetoloola Ensi Yonna, bakedde Kusaala Idi El Fitir Oluvannyuma Lw’okumalako Omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan.

Mu bubaka bwe obwagaliza Abasiraamu Idi, omubaka omukyala akyiikirira district y’e Ssembabule Mary Begumisa akubirizza abantu okusanyuka nga beerekeramu, kwossa okukekkereza ensimbi kubanga balina okuzza abaana ku Masomero. “Tubasaasira nti Eid Etuukidde mu Kiseera ng’ebintu bya Bbeeyi, naye tubasaba mukekkereze musobole okufissa ssente ezinagulira abaana ebikozesebwa ate n’okubasasulira Fees. Okusoma kunaatera okuddamu, sso n’abayizi abalala baddayo dda, tulina okusomesa abaana basobole okubeera ab’omugaso” Begumisa bweyagambye mu bubaka bwe.
Abakubirizza okugenda mu maaso n’okweyisa obulungi nga bwebabade beeyisa bulijjo nga bali mukisiibo, n’okukuuma empisa ennungi ey’okuyambagana, naddala nga bawaayo eri abalina obwetaavu. Akkaatirizza eky’okukuuma obumu n’emirembe kulw’obulungi bw’obusiraamu n’eggwanga lyonna okutwaalira awamu.
Begumisa era asabye abantu okwongera okukola ennyo, okulima emmere abamala, ssaako okweyunira enkulakulana n’okujjumbira enteekateeka za Gavumenti, basobole okukyusa obulamu bwaabwe. Abawadde amagezi okukekkereza ennyo n’okubeera abagumiikiriza, okutuuka emiwendo gy’ebintu n’ebbeeyi y’amafuta eri waggulu ennyo lwenakkakkana.
