Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mukukuza Olunaku lw’abamawulire e Masaka, bannamawulire bawanjagidde Gavumenti n’abakulu abakwaatibwako ensonga mu Ggwanga, omuli abakungu ba Gavumenti, abagagga n’abebitongole eby’enjawulo okukola ekisoboka okukomya ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu, kubanga bino byebiviirako n’okutyobola eddembe ly’abamawulire n’okubakubanga emiggo, buli lwebaba bagezaako okubironkooma.

Ezekiel Ssekweyama, omu kubannamawulire abagundiivu mu bitundu by’e Masaka, asinzidde mukukubaganya ebirowoozo wakati wabamawulire n’abakulu b’ebyokwerinda ssaako ebitongole ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu n’abamu kubakulembeze, n’akinogaanya nti ebikolwa ebityoboola abantu omuli n’abo abatalina bwoogerero bwebikoma, eddembe lya buli omu omuli n’abamawulire lijja kusobola okukuumibwa.
Ono era wabula awadde bannamawulire banne amagezi, okwekwaata obulungi n’okwefubako okukyusa embeera zaabwe nnenneyisa, okujjayo ekitiibwa kyaabwe n’ekifaananyi abantu mwebabalabira.
Hajjat Shifah Kateregga nga ye Ssenkulu w’ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Defenders Masaka, ategeezezza nti bannamawulire beetagibwa mu buli mbeera, okukuumira ensi mukitangaala n’okuwa amagezi ku nkulakulana y’eggwanga, nga Nabwekityo balina okukuumibwa n’omulimu gwaabwe okubaawo.
Ono era agamba nti nga beekutte bulungi, nebategeera omulimu gwaabwe n’obuvunaanyizibwa bwebalina okukyusa ensi, basobola n’okuyambako okukunga abantu okwekolamu omulimu, kulw’enkulakulana ey’ebitundu gyebava negyebawangaalira.
Omubaka wa Gavumenti atuula mu district y’e Masaka Teopista Lule Ssenkungu, ategeezezza kulwa Gavumenti nti tewabangayo muntu oba Kitongole kya Gavumenti ekyali Kiwadde babyakwerinda biragiro kukuba bannamawulire wadde omuntu yenna, wabula balagira kusalako busazi Kitundu okutangira abantu obutatuuka mu kifo kiyinza kubeera kyabulabe, wabula n’alabula nnyo Abamawulire okwewala okuwa amawulire agasiga obukyaayi, nti gano gayinza okuvaako obutabanguko mu Kitundu oba Eggwanga.
Kukwemulugunya kw’abamawulire kwebawadde ku ngeri gyebayisibwamu ku Mirimu gyaabwe n’ebitongole byebakolera omuli n’emisaala emitono, RDC agambye nti ekyo Gavumenti tekirinaako magezi nti Kubanga teyinza kusalirawo bitongole byekozesa, ku nsimbi zebalina okusasula abakozi baabwe, wabula nga wasaana okubaawo bulijjo okukkaanya okusaanidde.
Akwanaganya Poliisi n’omuntu waabulijjo mu Kibuga Masaka, ategeezezza nti oluusi waliwo bannamawulire abeeyisa ng’ebitagasa, n’abakaluubiriza emirimu gyaabwe, ekibaleetera oluusi okuva mu Mbeera.
