Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abantu ba Kabaka bajjukiziddwa ku kigendererwa ekikulu eky’okunyweza obwegassi, nga kussa mu nkola Kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka abantu okukolera awamu, okweyamba okukyusa embeera z’obulamu bwaabwe, n’ebitundu gyebava.

Mercy Nakayiza nga ye Manager wa Bbanka y’abegassi eya Buddu CBS PEWOSA SACCO asinzidde Kalisizo mu District y’e Kyotera mu Buddu, n’akinogaanya nti yali Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yennyini, eyatambula mu bantu n’abasanga nga bawangaalira mu mbeera y’obulamu eteyegaza, nga batawanyizibwa mu by’ensimbi n’okugaziya emirimu gyaabwe n’awa ekiragiro watandikibwewo enkola enabajuna okwetengerera muby’enfuna, okutabaganira awamu n’okuwangana amagezi kuby’ensimbi n’emirimu gyebenyigiramu okukola, enkola ya PEWOSA nejja okujuna naddala abakyala okuyamba ba Bbaabwe okuzimba amaka agaggumidde, okusomesa abaana ate n’okulakulanya ebitundu, nga nabwekityo eteekeddwa okunywezebwa.
Nakayiza bannabibiina era abakubirizza okulowooza ku kukola ebintu ebinene ne Project ez’enjawulo ezinabayamba okugaggawala, ng’ekittavvu kya Buddu PEWOSA SACCO weekiri okubakwasizaako, naddala nga Bagulayo emigabo, yyo SACCO nebaterekera Ensimbi zaabwe, okubawola ennyingi okukubisa muzaabwe ate n’okubabangula nga bayita mu Misomo egyibayigiriza ebintu eby’enjawulo.
Abasomesa b’ebibiina bya PEWOSA okubadde Ssekabira Charles Lubega, Gabriel Kibuule ne Musawo Proscovia Namanda, bakalaatidde banna PEWOSA okwongera okugoberera emitendera emituufu egyigobererwa mu bibiina okussa ekitiibwa mu bakulembeze ne Ssemateeka gwebagoberera mu bibiina byaabwe, okwewala ensobi ezisuula ebibiina.
Bbanka y’obwakabaka eyabannabibiina eno ng’erina ekitebe kyaayo ekikulu mu kibuga Masaka, yaggulawo ettabi e Kalangala mu Ssese, era ng’eteeseteese okuggulawo ettabi eddala mu Towncouncil y’e Kalisizo ssaako Amasaza amalala ageetolodde Buddu okuli; KOOKI, MAWOGOLA ne KABULA, okusembereza abantu obuweereza.
