Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mukaweefube w’okuzza eby’enjigiriza engulu n’okubangula obulungi abayizi, okubakumakuma ssaako okulaba nga bayiga basobole okuyita obulungi oluvannyuma lw’emyaka ebiri gyebaali bamaze nga tebasoma, abakulembeze mu district y’e Lwengo batandise okutema empenda okwagazisa abakwatibwako ensonga muby’enjigiriza okusobola okutuukiriza kino.

Ssentebe wa district y’e Lwengo Ibrahim Kitatta ayogeddeko ayogeddeko naffe n’ategeeza nga bwebali mukutuukirira abazadde, abayizi bennyini ssaako abasomesa okutema empenda, n’okunyikizza eky’okuzzaawo obukiiko obufuzi obw’amasomero (School Management Committees, Parents, Teachers and Students Boards-PTA) n’obulala, ssaako okussa amaanyi kw’abo abavunaanyizibwa kukulondoola eby’enjigiriza ku district n’amagombolola gonna okulaba nga buli omu atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe okubbulula eby’ensoma by’abayizi n’okutumbula amasomero mu Lwengo.
Kitatta era agambye nti okunyweza ebitongole by’amadiini ebirabirira amasomero y’omu kukaweefube gwebakutte, okutuukiriza ekiruubirirwa ekinene eky’okuzuukusa eby’ensoma ebyali bizinggamye n’okudda e Mabega olwa COVID 19.
