Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mmeeya wa Municipaali y’e Mubende Eng.Ssekiziyivu Innocent ategezezza nga Gavumenti bwesaanye okutongoza obukiiko obutakabanira enkulakulana y’ebibuga bu Municipal ne City Development Forums, nti kubanga bukola omulimu gwamaanyi okuwabula abakulembeze, n’okukola ng’olutindo olugatta abantu babulijjo nebannabyabufuzi ssaako ab’ebyekikugu Abaddukanya ebibuga ebyo.

Mmeeya Ssekiziyivu okwogera bino asinzidde ku MariaFlo Hotel mu Kibuga Masaka, mu Musomo ogwateegekeddwa aba Urban Authorities Association of Uganda, okubangula ba Mmemba b’obukiiko obwo nabamu kubakiise ku nkiiko z’ebibuga naddala ebya Buganda kungeri gyebayinza okutambulira awamu okukuza ebibuga byaabwe.
Ssekiziyivu agambye nti ssinga Obukiiko bwa Mucipaali ne City Development Forums butongozebwa era nebulambikibwa mu Mateeka, bwakwongera okuweebwa amaanyi okuddukanya emirimu gyaabwo awatali kutiisibwatiisibwa n’okulemesebwa oluusi okuva mubannabyabufuzi abalowooza nti bano bayinza okubatwalako ebifo, nabamu kubekikugu abatya okubaanika kubiba tebitambula bulungi.
Ono era ategeezezza ng’ebibuga bya Buganda bwebisaana okuweebwa enkizo okuva mu Gavumenti, nti kubanga enkula yaabyo nneneyisa yabantu yanjawulo okuva kubitundu ebirala, ate nga byettanirwa n’abantu okuva mu buli Kanyomero, n’akinogaanya nti bwewabaawo okwegatta mu bibuga bino, kyakubiyamba okukula.
Yye Alfred Ogwanga nga ye Ssaabawandiisi wa Urban Authorities Association of Uganda nga kino kigatta abakulembeze b’ebibuga bya Uganda agambye nti, bateeseteese omusomo guno okubangula banna bukiiko obutunuulidde enkulakulana mu bibuga ebyo, okubazzaamu amaanyi n’okulaga abakulembeze abalonde n’abyekikugu nti bano ssibalabe.
Akulira Masaka City Development Forum Vicent Kasumba, akkaatirizza nti okubaawo kw’obukiiko bwaabwe kuwa mwagaanya bantu baabulijjo era bannyini bibuga bino bennyini okwenyigira obutereevu kukuzimba n’okukuza ebibuga byaabwe, nga batuusa ebirowoozo byaabwe eri bekikwatako, ate era n’okubabuulira ekituufu ekiba kisaana okukolebwa wakati mukiseera nga bakolera emirimu egy’enjawulo mu Bibuga mwebali.
Omukungu Badru Kagga atwala Bulungibwansi mu Buddu, era ng’akiikirira abakulembeze b’ebyobuwangwa ku Lukiiko lwa Masaka City Development Forum, awadde amagezi abakulembeze b’ebibuga nti buli lwebabaako kyebagala okutegeeza abantu ku nkulakulana n’enzirukanya y’emirimu, batuukirirenga abakulembeze b’ennono n’eddiini okubayamba, nti kubanga balina eddoboozi eriwulirwa abantu.