Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mukaweefube w’okusobozesa abantu okutambulira mu mbeera eyeyagaza n’okyusa obulamu bwaabwe bwebawangaaliramu bulijjo naddala mu byalo byaabwe, omubaka omukyala akyiikirira district y’e Ssembabule Mary Begumisa abakanye nekaweefube w’okulambula ebitundu n’okutereeza zi Nnayikondo, okusobozesa abantu okufuna Amazzi amayonjo.

Ebimu kubizibu ebisinga okusoomoza abantu mu bitundu bya district y’e Ssembabule, gemazzi amakyafu ng’abasinga banywa wamu n’ebisolo mu bidiba ebisimibwa muzzi Ffaamu z’abantu n’ebifo eby’olukale, okunywesa amagana. Gavumenti okuyita mu district y’e Ssembabule ezze eteekawo zzi Ddaamu mu bitundu ebimu, naye mi bifo osanga abantu ssekinnoomu bazeekomya nebateekako n’olukomera okukugira abantu okuzeyaambisa, sso ng’ewalala osanga zaayononeka.
Omubaka Mary Begumisa atalaaze ebyalo mu Bitundu okuli Lwebitakuli, Mateete Towncouncil n’e Mitete, nalongoosa ebyuma bya Nnayikondo ezibadde zaafa edda, okusobozesa abantu okuddamu okufuna ku Mazzi ago amayonjo. Ono era alambudde nekubakadde mu byalo ebimu, okubazzaamu amaanyi n’okubawa ku buyambi.
