Bya Boniface Kizza
Abatuuze abawangalira kukyalo Kamusenene mu disitulikiti y’e Lwengo b’ebaguddemu ekikangabwa oluvvannyuma lw’omugagga ategerekeseeko erya Henry Sseremba okukakkana kumukozi we namukuba emiggo nga kwotadde n’ensamba ggere n’amutta nga amulanga kubba kataasa kamwanyi.

Atiddwa ye Stuart Kakooza 24, nga ono abadde mukozi munnimiro z’omugagga, abatuuze betusobodde okwogerako nabo batutegeezezza ng’omukozi bweyatodde kumwanyi z’omugagga z’abadde anoga natundako akataasa ekiwalirizza omugagga ono okumukakkanako n’amukuba mizibu ejjimuviriddeko okufa.
Wabula abatuuze bavvumiridde ekikolwa kino eky’okutta nga bagamba nti yandimututte mu bobuyinza bbo n’ebamuwa ekibonerezo ekisanidde wabula n’atatwala bulamu bwamuntu.
Kansala w’okukitundu kino eranga yakikirira abavvubuka Sharif Musoke asinzidde wano nasa ebitongole byonna ebikwasisa amateeka okuvaayo bikangavuule Sseremba n’abalala abateesetese okola kino bayige.
Ye amyuka sentebe we Lwengo Vicent Birimuye asabye abantu okusigala nga bakkakkamu bwewabanga waliwo ekigguddewo n’okufuga obusungu osanga kinamalawo ebikolwa by’okutwalira amateeka mungalo ngakino ekikoleddwa olwarero.
Omwogezi wa polisi mubitundu by’e Masaka Afande Muhammad Nsubuga avvumiridde ekikolwa eky’akoleddwa omutuuze ono eky’okutwalira amateeka mungalo, wabula n’akakasa banna Lwengo nga Sseremba bwagenda okwatibwa essawa yonna atwalibwe mumbuga z’amateeka abitebye.
