Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omulabirizi wa West Buganda Rt.Rev.Bishop Henry Katumba Tamale, akalaatidde abantu okunnyikiza empisa ez’obuntubulamu n’okuzimba abaana abali ensa nga bano bebajja okusobola okuzimba Uganda eggumidde era eyeyagaza.

Omulabirizi Tamale asinzidde Ssembabule gyabadde mukulambula Essomero lya Kkanisa erya Kawanda Church Of Uganda Secondary School, n’asaba abazadde, abasomesa wamu n’abakulembeze okukwataganira wamu okuwanggana amagezi ku ngeri y’okulinnyisa omutindo gw’ebyensoma, okuzza eby’engiriza engulu okusobola okutendeka abaana abajjudde obulungi nga bazimbiddwa ku musingi omunywevu ddala.
Ono era abuuliridde abayizi okwewala okutwalibwa amasanyu n’ebyensi wabula ebirowoozo byaabwe byonna babiteeke kukusoma, lwebajja okusobola okubeera ab’omugaso era n’ensi okubanguyirwa mu buli kintu kyonna Katonda kyaliba abasobozesezza okukola nga bakuze, nti wabula Omwana atasomye tasobola kubeera nabiseera byamu Maaso birungi biwa Ssuubi, era ensi ebeera yakumukalubira n’okufuuka omugugu eri Ekitundu n’eggwanga.
Omukulu w’e Ssomero lya Kawanda C/U Secondary School Patrick Muhwezi asiimye eky’abakungu b’eddiini abakulembeddwaamu Bishop okulambula ku Ssomero lyaabwe n’okwogerako eri abayizi wamu n’abasomesa baabwe, ky’agambye nti kibawadde obuvumu okwongera okukola n’amaanyi okusitula omutindo gw’ebyensoma n’okutema Empenda ku ngeri y’okwongera okuzimba Essomero lino n’okuliyitimusa ennyo naddala mu Kitundu kyaabwe ekya District y’e Ssembabule