Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omulabirizi wa West Buganda Rt.Rev.Bishop Henry Katumba Tamale, avumiridde ebikolwa eby’obutali bwenkanya ebyeyolekera mu Ggwanga lino, omuli okutulugunya abalala, obwannakyemalira, enguzi n’obubbi.

Bino Omulabirizi Tamale abyogeredde ku Maka g’obulabirizi ku Lutikko e Kako mu Kibuga Masaka, bu Bubaka bwe obwamazuukira n’asaba wabeewo engeri ennambulukufu ey’okukwaatamu ensonga naddala muby’amateeka, n’avumirira n’ebikolwa eby’ettemu ebyegiriisa.
Omusumba Tamale era avumiridde n’ebikolwa eby’obutabanguko mu Maka, n’ategeeza ng’obulabirizi bwebutandise kaweefube w’okutalaaga district za Greater Masaka eziri wansi wa West Buganda, okusomesa Abantu kukwewala ebikolwa eby’obutabanguko mu Maka wabeewo emirembe n’okwesiima Christu byeyaleeta.
