Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omulabirizi w’e Mukono Rt.Rev.Bishop James William Ssebaggala, awadde abantu amagezi okukomya okulowoolereza mukuweebwa, wabula berwaneko bokka na bokka okukyusa embeera zaabwe.

Kitaffe mu Katonda Ssebaggala asinzidde ku Ssomero lya Ndeeba C/U Primary School, gyabadde mukulambula obusumba bw’endeeba n’okusibuula abakristaayo wakati mukweetegekera okuwummula omwaka ogujja, n’ategeeza nga Katonda bweyatonda omuntu n’amuwa emikono n’amagulu n’obusobozi bw’okwetusaako buli kintu, nga nabwekityo Enkola y’okusabiriza esaanye ekome.
Ono era alabudde neku Ssomero lya Ssezibwa C/U Primary School, ng’ali wamu n’omusumba w’obusumba bwa Ndeeba Rev.Charles Bukenya. Omukulu w’essomero ly’e Ndeeba era y’akulira abakulu b’amasomero ga Kkanisa mu Kitundu kino, awanjagidde omulabirizi ku Bizimbe by’amasomero ga Kkanisa ebifumye, nga bijjudde enjatika, abayizi basoma tebetaaya era nga byoolekedde okugwa, kyokka Omulabirizi Ssebaggala n’amuwa Amagezi banoonye engeri y’okugaddaabiriza.
Abaweereza mu Kkanisa ya Uganda bawummulira ku Myaka 65, ng’omulabirizi Ssebaggala agenda kugyiweza Omwaka ogujja era awummule obuweereza. Abayizi ba Ndeeba Church of Uganda Bayise mu Luyimba, nebatendereza obuweereza bwa Bishop obuyitimusizza Mukono, omuli okutumbula omutindo gw’amasomero, eby’obulamu n’ebirala ntoko.
