By Boniface Kizza
Abakulembeze babavubuka ba Buganda Youth council basisinkanye okusobola okutema empenda ku butya bwebayinza okwebbulula okuva mu bibasoomoza naddala nga banyweeza empagi y’obumu, okwegata okwekulakulanya, awamu n’okwongera okwojiwazibwa kunsonga zobukulembeze mukawefube wokuzza Buganda ku ntikko.

Ensisinkano eno ebumbujjira ku Maria Flo Hotel mu kibuga Masaka nga eyingidde olunaku olwokubiri era nga egguliddwawo mubutongole omuyima w’olukiiko lwobukulembeze bwa bavubuka mu Buganda omulangira David Kintu Wasajja nga yakugalibwawo olunaku olwokubiri (enkya) Kamalabyona wobwakabaka munamateeka Charles Peter Mayiga, era nga yetabiddwamu abakulembeze b’abavubuka okuva mu Buganda yona ku mitendera ejenjawulo.
Wano omuyima w’abavubuka Omulangira David Wasajja wasinzidde nalambulula ng’ensisinkano eno bwegendereddwamu okubangula abavubuka ku bukulembeze obwesigamye ku mpisa, obukozi n’okulwanirira namulondo.
Omulangira wassajja akunze abavubuka okukuuma ebyo byebaasikira kko n’okwetegekera ebiseera bye gwanga eby’omumaaso. Nakirambika nti ye waali mugumu bwalaba Buganda jevudde newetuuse .
Mungeri yemu, ajjukizza abavubuka obuvunanyizibwa bwabwe omuli okukuuma Namulondo.
Omulangira Wasajja akubiriza abavubuka nti kyekiseera okuva mukwogera obwogezi ,wabula betanire okukola ,n,abawa n,amagezi okutandiikawo SACCO enabayamba okwekulakulanya,nga mu kino empologoma netefutefu okufunira abakulembeze ba bavubuka ettaka baliseko ebinavamu sente.
Minista wa Sabasajja Kabaka owabavubuka, ebyemizanyo n’okwewumuzaamu Owek.Henry Sekabembe Kiberu agamba nti Kati obwanga babwolekeeza okuzimba abavubuka basobole okweyimirizaawo naddala mubyenfuna nakikatiriza nga bwebakooye abavubuka abekubagiza mu Buganda.
Ssekabembe agamba nti mu Buganda mulimu abakulembeze ba bavubuka emitwalo 10 nga gino buli omu wakuwaayo omutwalo gumu buli mwaka kekawumbi kamu bakolemu ebibagasa.
Ssentebe w’abavubuka mu Buganda Baker Ssejengo ategezezza nti bagaala okuvaayo n’ebintu ebyenkizo omuli n’okulaba ng’obukulembeze butuuka ku muntu owa wansi.
Bbo abavubuka abetabye mu nsisinkano eno basabye banaabwe okwejjamu enkwe n’okufuba okulaba nga bekubiriza okutereka.