Bya Boniface Kizza
Akasittiro kaggudde ku polisi ye Kalisizo mu Kyotera disitulikiti omusibe abadde yakaletebwa bw’eyetugidde mukaddukulu ka polisi ng’akozesa akalesu kabadde yebikka.

Omugenzi ategerekeseeko nga ye Robert Luyima 35, nga abadde mutuuze kukyalo Kiwenda Matale ng’ono yakwatibwa poliisi oluvvannyuma lw’okukuba omwana wamwannyina namuyisa bubi nnyo.
Ensonda zitutegeezezza nti ng’ono tannaba kwekolako kikolobero kino alina ofiisa ku polisi eno gw’eyasoose okusisinkana n’amusaba kusimu abeeko gwakubira, eranga ebigambo ebimu ebyawuliddwa ono ng’ayogera kw’ekusibula gw’eyabadde ayogera naye ng’amutegeezanga bwatasubira kudda.
Johnson Kiwanuka, Sabawandiisi w’ekyalo Matale omugeenzi gyabadde awangalira agambye nti kino ekibaguddeko kyantiisa nnyo, wabula nasaba abazadde okufaayo okukuliza abaana babwe muddini ate nokubeera ab’empisa.
