Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Eyaliko Ssentebe wa Ggombolola y’e Kyazanga mu district y’e Lwengo, era nga ye Ssentebe wa NRM mu kitundu kino Kayondo Musa Bahati, agaanidde ddala era n’akisimbako n’amannyo nga Gavumenti ya NRM bwetalina mukono kubagagga abaagumbula omuze gw’okugobaganyanga abatuuze ku Ttaka n’ebibanja byaabwe, wadde ng’ebiseera ebisinga abeenyigira mu Mbeera eno balabwako nga bawerekerwako abakwata Mmundu.

Bahati era nga Muyambi wa Minisita w’ebyokwerinda Vicent Bamulangaki Ssempijja mu Bitundu by’ebbendobendo ly’e Masaka, abadde ayogera ku nsonga z’ettaka ly’e Kyazanga erifuuse Namulanda, agambibwa okuba Nnyini ttaka Muzeeyi Mutawonga lyayagala okuguza Omugagga George Mutabaluka, nga liri ku byalo ebiwerako okuli Busibo A, Busibo B, Busibo C, Kamese, Lubaale n’ebirala ng’abatuuze tebaweereddwa Mukisa kweegula, wadde nga bamazeeko emyaka mingi, n’asaba abakulu abagala okubagobaganya, balinnyeko mukyawakati.
Ono era ategeezezza nga bweyagezaako okulondoola ku Nsonga z’ettaka lino ng’akyali mu Offisi y’obwa Ssentebe bwa Ggombolola, n’abuulira Mutawonga nebanne eky’okukola, naye yewuunyizza okulaba nga bagenda mu Maaso n’okwagala okutunda nga tebagoberera Mateeka, n’avumirira n’ebikolwa eby’eyolekera ennyo mu Ggwanga naddala ku Ttaka, abagagga webekoobanira n’abebyokwerinda okutiisatiisa n’okunyigiriza abantu ba Bulijjo, nga bakozesa Emmundu.
Gyebuvuddeko Amyuka RDC wa Lwengo Isa Ntumwa, yayingira mu nsonga z’ettaka lino n’asazaamu Endagaano omugagga George Mutabaluka kweyagulira Ttaka lino, ng’ayagala abatuuze basooke baweebwe omukisa beegule kubibanja byaabwe.
