Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omwami wa Kabaka avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’emirimu gy’obwakabaka mu Ssaza Kooki Ow’ekitiibwa Getrude Nakalanzi Ssebuggwaawo, ataamidde Abakiise b’olukiiko lw’e Ssaza lino, olw’obutatuukiriza bulungi Buvunaanyizibwa bwaabwe.

Ow’ekitiibwa Ssebuggwaawo asinzidde mu Lukiiko lw’e Ssaza olutudde e Lumbugu mu Ggombolola ya Mumyuka Lwanda e Kooki mu Rakai, n’ategeeza ng’abaweereza bwebalina okumanya kyebagala ekyabalondesa okuweereza Kabaka waabwe, nga nabwekityo Balina Okwewaayo okuweereza awatali kwekwasa Nsonga yonna.
Ono awadde ekiragiro, eri abaami ba Magombolola, ba Mmemba ba Executive n’abakulira ebitongole okuwaayo Alipoota kubyebakoze n’enteekateeka zebalina, obutasukka Nnaku za Mwezi 15 Omwezi ogujja ogw’okuna. Abajjukiza era n’abakalaatira kuky’okutuuzanga enkiiko okuviira ddala ku Ssaza, Amagombolola n’emiruka okutuukira Ddala ku Batongole ku Byalo, era nga balina okuwuliziganyanga, Okwebuuza n’okuwanga amawulire Amatuufu era n’ensonga ezeekennenyezeddwa Obulungi.
