Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Atwala eby’obutonde mu Kibuga Masaka Henry Kibuuka, ategeezezza nga bwewatali muntu akkirizibwa kukolera mirimu oba okuzimba mu bitundu by’entobazi, nga talina lukusa okuva mu offiisi evunaanyizibwa kuby’obutonde bwensi.

Kibuuka asinzidde mu Lukiiko n’abatuuze b’e Kabonera mu division ya Kimaanya Kabonera mu Kibuga Kino, olwategekeddwa aba MASAKA CITY DEVELOPMENT FORUM-CDF ekulemberwa Vicent Kasumba, n’ategeeza nga bwekimenya Amateeka okwoleza ebidduka mu Bitundu by’entobazi, okusaawamu omuddo, okukumamu omuliro, okuvubamu n’ebirala, naddala nga tolambikiddwa.
Ono era ategeezezza nga bwekimenya amateeka okuleekanyiza abantu ebidongo mu Kibuga, n’okumala gamansa bisasiro.
Avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana, amaka ssaako okulakulanya abantu mu bitundu byaabwe muyite CDO Martin Kizza, asinzidde eno n’avumirira ebikolwa eby’okutulugunya abaana mu Maka, ebiviirako bangi okudduka ewaka nebadda ku nguudo, n’abawala nebawunzika nga bafunyisiddwa embuto.
E Masaka eno, waatandikibwayo ekitongole ekirwaanirira obutonde bw’ensi, naddala entobazi n’ebibira, ebiviirako enkyukakyuka y’obudde ereeta ekyeeya ekiwanvu mu bitundu ebimu, sso ng’ewalala bakosebwa nnyo kibuyaga, muzira n’amataba. Ekitongole kino kiyitibwa BIODIVERSITY CONSERVATION FOUNDATION-BCF nga Kikulemberwa Antonio Kalyango.
