Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Amyuka Omubaka wa Gavumenti mu district y’e Bukomansimbi Kalema Fred Pax, yeeweredde abalina omuze gw’okugobaganya abantu ku Ttaka n’ebibanja byaabwe nti waakubafufuggaza e Bukomansimbi.

Ssalongo Fred Pax Kalema, y’abadde amyuka RDC w’e Butambala, nga yaleeteddwa e Bukomansimbi mu Nkyukakyuka ezaakakolebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni. Ono abadde ayogerako n’abamawulire n’ategeeza ng’ekizibu ky’e Ttaka bwekiri ekyamaanyi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’okusinga abeeyita bannyini ttaka bagobaganya nnyo ab’ebibanja nga waakukirwanako e Bukomansimbi. “N’otunuulira omuntu eyeeyita Nnannyini Ttaka, n’omala emyaka abiri ng’abatuuze bo tebakumanyi, n’olyoka ojja mbu obagoba?” Pax bweyeewunyizza
Kalema Pax ono Nzaalwa y’e Masaka, nga yali musunsuzi wa nsonga za byabufuzi ku Mikutu egy’enjawulo era nga yeenyigira mu mirimu egyitumbula ekibiina kya NRM. Yalinga Musaale nemukukunga abantu okulwaanyisa akawuka ka Mukenenya.
