Bya Boniface Kizza
Omwami wa Kabaka, omukulembeze mu ssaza lye Buddu Pokino Jude Muleke awanjagidde banabuddu bona jebali ababade bajumbidde entekateka yokusimba nokulima emwanyi, obutagezaako kukemebwa kuggwamu manyi batandike okuzitema olwokawuka akazirumbye.

Pokino asinzidde mu lutikko e kitovu mu Misa yokumakya ekulembeddwamu bwanamukulu we kigo ky’e kitovu era atwala lutiko Eno faaza Anthony Kakumba Mwanje, jakulembedemu eteekateka abakurisitu okwetaba obulungi mu misa eyolunaku lwenkya eyokunyenya amatabi era NGA mu Misa Eno mwemubade nokwebaaza katonda olwabakurisitu okutambuza obulungi ekisibo kino ekitukuvu.
Mu bantu bakatonda abazze mu bungi mu lutikko e kitovu mwe mubadde ne pokino Jude Muleke, Kamugombwa we ssaza Buddu ,asinzidde wano nategeeza nga wade waliwo akawuka akatanategerekeeka akazinze abalimi be Mwanyi e Buddu akazirya ebikoola kyoka nalaga okutya olwabalimi abatandise okutema emwanyi zabwe olwakawuka Kano kagamba nti kasobola okulwanyisibwa.
Mungeri yemu asabye abakuristu okwongera okwesengereza omukama mu kaseera Kano.
E Misa Eno ekulembeddwamu bwanamukulu we kigo ky’e Kitovu faaza Anthony Kakumba Mwanje, avuddeyo natendereza abakyala aberwanyeko ku mulembe guno nebavuganya nabasajja mu bintu ebyenjawulo wabula nasaba abantu obutateka sira kukubangula nakutegeeka baana babuwaala boka nebalabira abobulenzi kubanga Baja kufuuka babulabe eri abaana abobuwaala ababanguddwa nokufibwako mu ngeri eyenjawulo.
