By Elisa Nicholas Ssekitende
Amyuka Omwami wa Kabaka Atwala Essaza ly’e Buddu Ppookino Muwalimu Kato Abdallah Kalule, avumiridde ebikolwa eby’obunnanfuusi, obulyazaamanya, obunafu lubojje n’okuliikirira abalala, ebyeyolekera ennyo mu Ggwanga lino.
Omumyuka wa Ppookino Muwalimu Kato Abdallah ono asinzidde mu Ggombolola y’e Kkingo mu Muluka gw’e Kasaana e Lwengo mu Buddu, ku Mikolo gy’okutuuza omwami wa Kabaka ow’omuluka ogwo Samwiri Kalibbala, n’akubiriza abantu buli omu okulima olubimbi lwe, okubaako ky’akola okuzimba obulamu bwe n’okuweereza ensi ye, n’avumirira abalindirira okuweebwa obuweebwa, n’okuliira ku ntuuyo z’abalala.
http://ugabuzz.com/wp-content/uploads/2022/04/AMYUKA-PPOOKINO-MUWALIMU-KATO-ABDLLAH-E-LWENGO.mp3

Ono era akubirizza abaweereza n’abantu ba Kabaka obutaggwaamu Ssuubi wakati nga bayita mubisomooza, wabula bakole nnyo okwerwanako okukyusa embeera zaabwe ez’obulamu.
http://ugabuzz.com/wp-content/uploads/2022/04/PPOOKINO-AKUBIRIZZA-OBUKOZI-NOBUYIIYA.mp3
Omwami wa Kabaka owa Ggombolola Mutuba 12 Kkingo, asinzidde eno neyebaza bannabyabufuzi abatambulira awamu n’abaweereza b’obwakabaka okubanguyiza emirimo, n’avumirira abo ababulwanyisa n’okwenyigira mu bikolwa eby’okunyaga ettaka lya Kabaka n’okwagala okusuula Buganda.
http://ugabuzz.com/wp-content/uploads/2022/04/MUT-12-KKINGO-ABATAAMIDDE.mp3
Omukolo guno gweetabiddwaako ne Ssentebe wa Ggombolola y’e Kibinge Bukomansimbi mu Buddu Deo Bwanika, Ssaako Omulwanirizi w’eddembely’obuntu era eyavuganyako ku kifo ky’omubaka wa Bukoto South mu Lwengo Julius Ssentamu, akubirizza abantu okwettanira okulima emmwaanyi n’okukuuma omutindo gwaazo, ate n’okweyunira enteekateeka z’obwakabaka ez’obwegassi n’enkulakulana.