Bya Nicholas Ssekitende
Omumyuka wa Ppookino Muwalimu Kato Abdallah Kalule, ategeezezza nti okulwana okukuuma obutonde bwensi n’obuyiiya naddala mu Bavubuka y’engeri yokka egenda okuyamba okuyitimula Buganda, n’okuzzaawo ekitiibwa ky’ensi yaffe ate n’okukuuma embeera y’ensi ennungi ab’emirembe egyijja gyebanasanga.

Amyuka Ppookino Abdallah Kalule okwogera bino, asinzidde mukulambula Abavubuka wamu n’abakyala abeegattira mu Kibiina kya TULI BUMU WOMEN’S GROUP Kyabbogo, ekisangibwa mu muluka gw’enkoni mu Ggombolola ya Mut 12 Kkingo mu Ssaza Buddu, n’akinogaanya nti Ssaabasajja Kabaka akubiriza abantu be Okukuuma obutonde bwensi yaffe, ate n’okuba Abakozi.
Abavubuka wamu n’abakyala mukitundu kino, nga bali wansi w’ekitongole ekitakabanira okukuuma obutonde ki Action for Climate Change and Environmental Conservation ekibakwasizaako, baasalawo okukunggaanya Kasasiro n’obucupa okukolamu Amanda n’obuyinja bwa “Pavers” nga bano ppookino atenderezza obuyiiya bwaabwe nti businga abakayaanira omusaala ogutamala.
Ono era avumiridde ebikolwa eby’okutwala abavubuka ba Buganda mu Mawanga ga Buwarabu okukola Obuddu, sso nga basobola okukozesa ebibetoloodde mu nsi yaabwe, nebabaako byebetusaako.
Ssenkulu w’ekitongole ekirwanirira okukuuma obutonde bwensi kino ekya Action for Climate Change and Environmental Conservation Paul Kalungi, ategeezezza nga bwebasalawo okutendeka abakyala n’abavubuka okukozesa ebicupa n’ebiveera okubijjamu ebikozesebwa mukufumba nemukuzimba, kiyambe okutaasa embeera y’obudde ate nga bwebayingiza ensimbi.
Mukyala Pricilla Kakinda nga y’akulembera ekibiina ky’abakyala ba Tuli Bumu Women’s group, agambye nti enteekateeka eno eyambye abakyala abakadde nebannamwandu okwebezaawo nga bayingiza ku kasente.
Wabula Keefa Kalanzi nga y’akulira olukiiko oluddukanya ekitongole kino, ategeezezza nga bwebalina okusoomozebwa ku buvujjirizi obutono, n’ebikozesebwa ebitamala, n’asaba Gavumenti n’ebitongole okubakwasizaako.
