Bya Boniface Kizza
Ng’eggwanga lyonna ly’etyegekera okukyusa obukulembeze bwabakyala okuviira ddala kumutendera oggwebyalo, amaggombolola neku disitulikiti, amyuka omubaka wa gavumenti mukibuga Masaka Ahmmad Kateregga Musaazi avuddeyo nakalatira banna Uganda nokusingira ddala banna kibiina kye okujjumbira okulonda kuno.

Ono bwabadde asisinkanye basabakunzi ba NRM okuva mu disitulikiti ezikola ebbendobendo ly’e Masaka nga ensisinkano eno eyindidde mukibuga Masaka, RCC Kateregga ategezezza bannamawulire ng’ebifo bino bwebitafibwako olwabantu obutabitwala nga kikulu songa abakulembeze bokumitendera nga jino bebasinga okumanya ebizibu bannansi byebayitamu.
Wabula ono ategezezza nga Nrm bweyetaaga ennyo akalulu kano oba olyawo basobole okuziba kubituli ebyabakubibwa aboludda oluvvuganya mukalulu kwomwaka oguwedde bwebabangulako kumpi buli kifo.
Ono agaseeko ng’omuntu atewandiise bwatagenda kukirizibwa kulonda wadde okwesimbawo kukifo kyonna, awo nakubiriza banna Uganda okusingira ddala okugenda bewandiise.
Akalulu kano kasubirwa okubaawo mu ssebo aseka (June) womwaka guno eranga kakwetabwamu abakyala muggwanga lyonna.