Bya Elisa Nicholas Ssekitende

Omubaka wa Gavumenti Atuula mu District y’e Lwengo Herman Ssentongo, awadde ebiragiro eri ba Ssentebe b’amagombolola wonna okwetoloola district eno, okusimba emiti egy’ebibala n’ebikome ku bitebe byaabwe.

RDC Ssentongo era alagidde n’abakulu b’amasomero nabo okusimba emiti ku Nkomera z’amasomero gaabwe wamu n’ebibangirizi, olwo n’abantu baabulijjo balabireko okugyisimba mu Maka gaabwe, ng’omu ku Kaweefube w’okuyambako okutaakiriza obutonde n’okwewala ebibamba ebijja bibagwiira.
Kino kiddiridde Kibuyaga owamaanyi nemuzira ebyakuba abatuuze ku byalo ebiwerako mu Ggombolola y’e Malongo mu district eno, abantu nebasigala nga tebalina mmere yakulya, olw’ensuku zaabwe n’ebimera ebirala okusaanyizibwawo, sso nga n’abamu amayumba gaabwe gaalekebwa ku Ttaka, nebasigala nga tebalina webeegeka Luba!!
RDC Ssentongo nti ssinga abantu bajjumbira okusimba emiti n’okukuuma obutonde, kijja kuyambako okwewala ebigwa tebiraze nga bino ebiviirako n’abamu okufiirwa obulamu, ne Gavumenti okusasaanya ensimbi ennyingi mukubadduukirira.
