Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ennaku eziyise, wabaddewo obunkenke mu Ssaza lya Kabaka Kooki, nga Police eduumirwa DPC Joshua Kananula, ebadde esiiba yezooba n’abantu ba Kabaka mu Ggombolola ez’enjawulo Okuli Ssaabaddu Lwamaggwa, Mutuba Ebiri Kifamba newalala, nga Balemesa Abantu ba Kabaka Okwetaba mukuzannya Emipiira gy’amagombolola, wakati Mukweetegekera Emipiira gy’amasaza ga Buganda.

Poliisi ebadde ekolera ku Biragiro bya RDC Sarah Kiyimba, ng’agamba nti Abeetabye mu Mipiira bamenya Etteeka ly’enkungaana ekiyinza okuleetawo Obutabanguko.
Wabaddewo okulwanagana wakati w’abantu abalemesa Enteekateka z’obwakabaka, nga bagamba Kooki erina Obufuzi obwetongodde obukulemberwa Kamuswaga alumiriza nti Gavumenti yatongoza Obufuzi bwe era bulambikiddwa mu Ssemateeka kyokka nga n’abantu ba Kabaka bafunvubidde, nga bagamba nti baganda abatasobola kuva ku Kabaka waabwe ekyaleesewo obukuubagano n’okuwera enkolokooto okuva ku Njuyi Zombi.
Olw’okulemesa Enteekateka z’obwakabaka n’amaanyi agateereddwaawo Poliisi ku Biragiro bya RDC Kiyimba, abaweereza b’embuga nga bakulembeddwaamu Omwami wa Kabaka Atwala Buddu Ppookino Jude Muleke, Omwami wa Kabaka akwaanaganya emirimu gya Kabaka mu Ssaza Kooki Ow’ekitiibwa Getrude Nakalanzi Ssebuggwaawo, bevumbye Akafubo wakati wabakulembeze abatwala Rakai Okuli Ssentebe Ssekamwa Kaggwa Samuel, RDC Sarah Kiyimba n’omumyuka we Faizol Sseruwagi, DPC Kananula Ssaako ab’oludda lwa Kamuswaga, Abaami ba Kabaka nebategeeza abakulu e Rakai nti Lino Ssaza lya Kabaka.
Wano Ssentebe w’e Rakai yakawanggamudde bweyategeezezza nga bwabadde takimanyiiko nti Kooki etwalibwa Buganda kyokka Oluvannyuma Kyasaliddwaawo nti emipiira gya Kabaka Egyamagombolola wakati Mukweetegekera empaka z’amasaza gyakugenda mu Maaso ewatali agyikuba ku Mukono, emikolo gy’obwakabaka n’enteekateeka Zonna e Kooki gyirina okukolebwa ewatali alemesa, Okukwasa abakadde Kabaka beyasiima okuzimbira Amayumba mu Ssaza lino kyakukolebwa ewatali aziyiza, Abavubuka Abakwaatiddwa kyakkanyiziddwaako okuteebwa awatali Kakwakkulizo, nga nemipiira gy’amasaza ga Buganda gyakuzannyibwa mu Kiseera nga gyituuse.
Wabula Abavubuka okuva ku njuuyi zombi bakubiriziddwa okukomya okukyamuukirira n’okusosonkereza bannaabwe, okubeera abakakkamu era ab’empisa Ssaako okuleekerawo ebikolwa eby’okwekumamu ogutaaka ebiyinza okuvaako Akakyankalano.
