Bya Boniface kizza
Ng’abakyala b’etegekera okulonda obukiiko bwabwe okuviira ddala kubyalo kumiruka n’okumutendera gw’eggwanga ly’onna. Amyuka omubaka wagavumenti mu district y’e Rakai Sseruwagi Faizal avuddeyo n’akalatira abakulembeze ba NRM kumagombolola okutalaga amatendekero gonna agawaggulu agali kubuli muluka okuwandiika abaana bonna abasumuseemu basobole okwetaba mukulonda.

Bino bijjidde mukaseera nga akakiiko kebyokulonda muggwanga, ng’akayita mu mwogezi wako Paul Bukenya ky’ekajje kafulumye ennambika en’agobererwa mukulonda k’obukiiko bw’abakyala.
Amyuka RDC ayongeddeko nti singa abaana bano bawandikibwa munkalala z’abalonzi tewajja kubaawo abaziyiza kw’etaba mukulonda olwo kiwe ekibiina ekiri mubuyinza (NRM) enkizo okuwangula ebifo ebisinga obungi.
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga omuntu y’enna atabe munkalala z’abalonzi bw’atagya kulonda ne bwanaaba ng’amannyikiddwa ku kitundu.
Okulonda obukiiko bwabakyala busubirwa okutandika musebo aseka (june) w’omwaka guno ng’abatandikira kubukiiko bw’abakyala obw’okubyalo.