Bya Boniface Kizza
Omubaka wagavumenti mu disitulikiti y’e Rakai Sarah Kiyimba alaze okutya olwabakozi bagavumenti ku district abakola emirimo gadibe ngalye n’ekivirako ensimbi y’omuwi womusolo okufa ttoge nga kwotadde n’enguzi ekkudde ejjembe kyagambye nti kikonzibya emirimu gya gavumenti ne district yonna okutwaliza awamu era neyewera okubirwanyisa mukisanjakye nti kuba kittatana erinnya lya gavumenti.

Ono okwogera bino asinzide munsisinkano gyabaddemu nabakulembeze ba Nrm okuviira ddala kumutendera gwa district namagombolola nekigendererwa kyokubanyikizaamu ebyo ebiri mu manifesito ya NRM nokulaba engeri gyebalina okutukirizamu obuwereza mubantu.Ono agamba nti akaseera akatono keyakamala mu wofiisi yesanze ngebintu bibadde tebitambula bulungi olwobulyake obweyolekedde mubakozi ba gavumenti ku district nga abangi bawebwa emirimo kyokka tebatafaayo nga bagikola.
Ye amyuka omubaka wa gavumenti Sseruwagi Faisal abasabye okunnyikiza mubantu pulogulamu za gavumenti zonna naddala ezokwekulakulanya naddala parish development model emyoga nendala kiyambe okusitula embeera zaabwe wamu ne district y’e Rakai.Era ategezezza nga bwebatagenda kukiriza kibba ttaka mu Rakai nga bwekize kirabikira mubitundu ebirala.
Abamu kubakulembeze abetabye munsisinkano eno nga bakulembeddwamu sentebe wa Nrm mu Rakai district Benon Mugabi bategezezza nga bwebalina obulumi olwebintu ebibasubizibwa kyokka nebitatukirira nga kotadde nebizibu ebingi ebiri mu distric yabwe nga muno mwemuli enguudo embi,ekibba ttaka, abakozi ba gavumenti obutatuusa buwereza kubantu nebirala.
