Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Amyuka Omubaka wa Gavumenti mu district y’e Lwengo Issa Ntumwa akawanggamudde, bw’asazeewo okuyuzaamu endagaano y’omugagga ategeerekesee nga George abadde yaguze ettaka eriwezaako Yiika 100, ku Lc 3 ez’ekyalo Busibo “ A” Busibo “B” ne C mu Ggombolola y’e Kyazanga mu Lwengo, era ng’abadde ateekateeka kugoba batuuze balala abawangaalira ku Ttaka lino.

Abatuuze abamaze emyaka egyisoba mu 10 ku Ttaka lino bataamye, nga bawakanya ekya muzeeyi Mutawonga okuguza George ettaka lino kwebalina ebibanja, bbo nga tebaweereddwa mukisa Kweegula.
Wano amyuka omubaka wa Gavumenti atuula mu district eno Isa Ntumwa waaviriddeyo okuyingira mu nsonga zino, n’akinogaanya ng’amateeka g’ebyettaka mu ggwanga bwegawa ab’ebibanja omwagaanya okwegazaanyizza ku ttaka kwebali kasita babeera nga bawa obusuulu, sso nga nnyinyiryo bw’asalawo okulitunda ab’ebibanja bonna abaliko balina okuweebwa omukisa okusooka okwegula, ky’avudde asazaamu endagaano omuntu kweyabadde agulidde, n’asindika nnyini ttaka ateese n’abantu bonna abaliko.
