Bya Boniface Kizza
Polisi e Masaka ebakanye n’eddimo ly’okunonyereza kubutemu obwakoleddwa ssemaka God Ssennyonga 56, omutuuze ku kyalo Buculo mukibuga Masaka nga kigambibwa nti ono y’akutte ejjambiya natematema muganzi we Juliet Nagawa n’asigalako kikuba mukono.

Bano bombi batuuze kukyalo kino era babadde bamanyiddwa ng’abagalana ababiri nga Ssenyonga omukazi ono amulinamu abaana abawerera ddala 13 kyokka yamutemyetemye emikono, amagulu nga kwotadde n’emukifuba.
Nagawa yayoleddwayoleddwa abatuuze wabula nga takyasobola kweyamba olw’ebijambiya ebingi ebibadde bimutemyetemye y’enna omubiri gwonna.
Abatuuze betwogeddeko nabo batubulidde nti abagalana bano baludde nga basojagana naye nga nabo tebamanyi kituufu kyaviriddeko mwami kkola kikolwa kino.
Ye God Ssennyonga olwamaze okkola ekikolwa kino eky’obutemu yaddukidde kukyalo Kibindi gy’asangiddwa nga yetuze, oluvvanyuma omukyala atwaliddwa muddwaliro ekkulu e Masaka afune obujanjabi.
Omwogezi wa polisi mubukiika ddyo bwa Uganda Afande Nsubuga Muhammad ategezeeza nga bw’ebabakanye dda n’okunonyereza kalibutemu ono ngera essawa yonna wakwatibwa olwo agende agasimbagane n’omulamuzi.
