Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssaabasumba w’e Ssaza Ly’e Klezia Ekkulu erya Kampala Arch Bishop Joseph Ssemwogerere, akubirizza abantu okujjumbira okukola ennyo, basobole okubaako by’ebetusaako mu Bulamu, okuweereza obulungi Katonda n’eggwanga Lyaabwe.

Ssaabasumba Ssemwogerere asinzidde ku Kyalo Minyinya mu Ggombolola y’e Kyannamukaaka e Masaka mu Buddu, ku Mukolo omuwandiisi w’ebyenjigiriza mu Ssaza lya Kasana Luweero Brother Anthony Musisi wajagulizza emyaka 50 mu Kibiina kyaba Brothers of Christian Instruction Kisubi, neyewuunya abantu Katonda beyawa Emikono, Amagulu n’omutwe oguyiiya Okubeera awo nebakaaba obwavu mu Kifo ky’okukola, n’agamba nti abalinga bano bebazinggamizza enkulakulana y’e Ggwanga n’okulemesa emirimu gy’e Klezia.
Ssaabasumba era atenderezza nnyo emirimu gya Brother Anthony Musisi mu Myaka 50, n’agamba nti awa eky’okulabirako ekirungi Klezia n’e Ggwanga, kwekusaba abantu abalinga ono basabire nnyo eggwanga libeeremu abantu abalimu Ensa nti Kubanga Kati Abakulembeze, Bannaddiini n’abantu ab’obuvunaanyizibwa abenyumirizibwamu n’okulabirako eri emito mu Ggwanga lino batono, ng’ebikolwa eby’ekko be Baana Baliwo.
Ssaabasumba era akubirizza eky’okusomesa abaana mu Masomero Amalungi, Gavumenti okufaayo eri eby’enjigiriza, n’abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa ennungi n’eddiini.
