Bya Boniface Kizza
Kooti e Masaka esindise ababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana mu kooti enkulu batandike okuwerenemba n’emisango egyibavunaanibwa egy’ekuusa ku kutta abantu n’ebijambiya.

Bano fayiro yaabwe eyongeddwako omuwawabirwa omulala ategerekese nga Ssenyonga Wilson nga ono kigambibwa nti bano bamupangisa okubakolera obutemu buno.
Abasatu bano kigambibwa nti emisango gino baagyizza nga 2/8/2021 ku kyalo Kisekka B mu district ye Lwengo nga bano baatirimbula Bwanika Joseph ,nga beyambisa ebijambiya.
Omuwabi wa gavumenti ali mitambo gy’omusango guno Richard Birivumbuka , bwalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege asoose kwanjulira kooti omuwawabirwa ow’okusatu musango guno Ono nga ye Ssenyonga Wilson.
Ono anyonyodde kooti nti ekyabadde kirwisizaawo omusango kwekubanga omuwawabirwa Ssenyonga Wilson yali tanagatibwa ku file ng’abadde akyayambako Poliisi mu kukunganya obujulizi Kyokka nga Kati buli kimu kyawedde era bwatyo kwekutegeeza nga bwebali abeteefuteefu okubasindika mu kooti enkulu bewozeeko.
Omulamuzi Nantege asomedde abawawabirwa obujjulizi obuli ku file yaabwe omuli okubanga baatuzanga enkiiko ezipanga ettemu lino ku baala emanyiddwa nga Happy boys mu Ndeeba okumpi n’akayanja ka Kabaka era nga waliwo n’obutambi bwa Camera kko n’obukakafu ku masimu obulaga nti enkiiko zino zagendanga mumaaso.
Ono bwatyo bonsatule abasindise mu kooti enkulu bewozeeko mu misango gino.
Kyokka ba Puliida babawawabirwa basabye baweebwe obujulizi bwonna obuli ku file mubudde basobole okwetegeka kko n’okukebera omuwawabirwa Senyonga obwongo, agambibwa nti yakiriza dda omusango kyokka Omuwabi wa gavumenti nabakakasa nti omuwawabirwa ono mulamu tteke kuba nemu kooti abadde takuba mayinja.
Bbo ababaka okuli Segirinya ne Sewanyana bawunikiridde nga bagamba nti bino byonna babasibako matu ga mbuzi kubalisa ngo.
Ba Puliida abali musango guno bategezeza nti Kati bazaako kyakusabira Bantu baabwe bail.
